Kigasa okwogera n'abaanabo?

Maama n'omwana nga bazannyamu obuzannyo obuyigiriza
Image: Yintaneeti

Mu kawaayiro kaffe kano ak'eby'ennono kkiriza leero twogere ku makulu agali mu kwogerako n'abaana ggwe omuzadde.Kirungi nnyo okwogeranga n’abaana baffe ekiseera kyonna ne bwe babeera bakyali bato,tebabeera bato nga ggwe bwobeera olowooza.

Nsaba nkujjukize nti abaana abo babeera baatandika dda okuwulira ebigambo byaffe ng'abazadde nga bakyali na mu mbuto,abakugu bwe bagamba nti era bwe bazaalibwa babeera bamanyi amaloboozi ga bazadde baabwe ge babeera baawuliranga nga bakyali mu mbuto.Kino kikola ku maama ne Taata nga babeera wamu.

Abuusabuusa kino tunuulira omwana ,omwana omuto ddala muzaddewe bwamuyita abaako kyakola ekiraga nti awulidde era bwaba abadde akaaba maama oba Taata n’ayita erinnyalye asirikamu ate bwamukwata ne bwatayogera asirika kubanga amanyi muzaddewe bwawunya.Muzadde w'omwana ono bwagattako eddoboozi omwana akkakkanira ddala bwe waba ng’ekibadde kimukaabya tekibadde kinene nnyo.Nsuubira wali owuliddeko kye bayita omwana okugaana? omwana oyo tewabeerawo yamugamba nti bano be bazadde bo,naye atali muzaddewe bwamukwatako ng'akaaba ekiraga nti takkanyizza naye,abo betuyita abato!

Ggwe omuzadde atayogerako na baanabo ku nsonga ez'ensonga ng’ogamba nti bakyali bato nkusekeredde,abaana batandika okuwuliriza bazadde baabwe nga bakyali mu mbuto,yogerangako nabo.

Mukwano gwange, abaana baabo bakomawo okuwummula,ogenda okulowooza nti bato tolina kyosobola kubabuulirirako ,ng'eno abaagala okubawabya beeteekateeka.Lwe balyogerako nabo olimbuulira ebirivaamu,bajja kutwala eby'abantu abo ng’ebikulu kubanga ebibyo tebabiwuliranga.Omuganda agamba nti embuulirire tefa yonna.