Ensibuko y'amannya Kayiira Gaajuule ag'Embogo

Omukulu w'ekika ky'ab'Embogo Omutaka Kayiira Gaajuule Fredrick Kasibante
Image: Yintaneeti

Mu kawaayiro kaffe kano ak’eby’ennono,omugoberezi wange nsaba leero okkirize mmalirizeeyo ennono y’ab’Embogo ne Kabaka wa Buganda gwe bakongojja.

Ntandise n’erinnya ly’omukulu w’ekika oba ow’Akasolya Kayiira Gaajuule.Jjajjaffe ono arinnya eryamutuumwa mu buzaale lya Makumbi wabula mu kujja n’omulangira Kimera nga bava e Kibulala mu Bunyoro gyeyali yazaalibwa Nnamasole Wannyana ng’Omulangira ono Kimera ajja okulya Obwakabaka kuno,jjajjaffe nnakugambye nti yali muyizzi bwatyo yajja ayigga ensolo ze bajja baliira mu lugendo lwabwe lwonna.

Bwe batuuka ku mutala Mugulu mu Ssingo Embwa y'Omulangira Kimera eyayitibwanga Ssemagimbi n’esuula Ekide,musajjamukulu Makumbi n’akoleeza Oluyiira akinoonye mangu kubanga kyalimubeeeredde kizibu okulaba mu nsiko y'ettale.

Omulangira Kimera bweyalaba omukka gw'oluyiira n’abuuza nti ani oyo akoleezezza Akayiira? n’ategeezebwa nti kitaawo Makumbi,jjukira Kimera yali awasizza Namagembe muwala wa Makumbi ow'Embogo era bwe baali bajja.

Awo jjajjaffe n’afuna erya Kayiira,bwatuuka kuno nga wayise ekiseera yaweebwa ku mwenge gwa kuno Omuganda n’awulira nga ssi muka ng'omwenge gweyali amanyidde okunywera e Bunyoro gye baava n’agamba nti ‘’ihii amaalwa ga juule’’ ekitegeeza nti omwenge nga gwa jjuule ssi muka,lino nalyo nerimukazibwako n’afuuka Kayiira Gaajuule n’okutuusa leero.

Omu ku batabani ba Makumbi gwetuyise Kayiira Gaajuule kati amanyiddwa nga Wavvuuvuumira bwe baali bajja kuno ye yasamba ekisaka awaawummuzibwa Wannyana nnyina Kimera bweyafumitibwa eriggwa nga bajja, ono wano yatuumirwawo erinnya erya Kasamba erinnya eryamerera ddala n'okutuusa leero ng'abazze bamuddira mu bigere bayitibwa ba Kasamba era y’omu ku b’Amasiga mu kika ky’Embogo.