Ab'Embogo batandika batya okukongojja Kabaka

Sseddume w'Embogo
Image: Yintaneeti

Mu kawaayiro kaffe kano ak’eby’ennono,omugoberezi waffe omulungi nsaba okkirize nkujjukize nti buli kika mu Buganda kirina emirimu gyakyo emitongole ku Mpologoma nga Bazzukulu ba Kayiira e Mugulu ab’Embogo be bavunanyizibwa ku ntambula y’Omutanda be bakongojja Kabaka nga bakulemberwamu Jjajjaabwe Kayiira Gaajuule.

Ka nkujjukize obukongozzi bazzukulu ba Kayiira we baabuggya.Awo olwatuuka Omulangira Kimera n’awasa Namagembe muwala wa Makumbi ow’Embogo,Omulangira Kimera aba ava e Bunyoro gye yazaalirwa nnyina Wannyana okujja okulya Obuganda Makumbi n’ajja ne batabanibe bana bakoddomi b’Omulangira eyali ajja okulya obwa Kabaka,bano kwaliko Kaddu,Walakira,Wavvuuvuumira oluvannyuma eyaweebwa erya Kasamba ne Ssemitego.Makumbi yali muyizzi era yayigganga n’Omulangira Kimera ng’akyali e Kibulala mu Bunyoro.

Olumu bwe baali batambula nga bajja e Buganda awamu ne mukoddomi waabwe ne mwannyinaabwe,mwannyinaabwe Namagembe n’akoowa,Wavvuuvuumira yalaba mwannyina akooye n’amusitula,Omulangira Kimera yalaba mukoddomiwe asitudde mukyalawe naye n’asaba asitulwe,Makumbi taata w’abalenzi abo n’alagira mutabaniwe Kaddu asitule Omulangira mukoddomiwe,Kimera,awo ab’Embogo webaggya Obukongozzi bwebakola n’okutuusa leero nga babuggyira ddala ku biragiro bya jjajjaabwe Kayiira Gaajuule eyafuna erya Kayiira olw’obuyiira bweyajja akoleeza olw’okuyigga Ensolo nga bwetwalabye nti yali muyizzi.