Ddala Nnamasole y'ani?

Amasiro ga ba Ssekabaka ba Buganda age Kasubi ng'omulabe tannagateekera muliro
Image: Yintaneeti

Mu kawaayiro kaffe kano ak’eby’ennono,omugoberezi waffe nsaba leero okkirize ngende mu maaso n’amannya amalala agaayitibwanga Nnyina Kabaka Nnamasole ng’eno bwetukyagenda mu maaso n’okujaganya nga bwegiweze emyaka asatu nga Nnyininsi alamula.

Nnamasole ayitibwa Nnabijjano olw’okuzaala Kabaka Ejjano lyennyini oba gwe waaliyise omuntu atali wa bulijjo.

Erinnya lya Nnamasole eddala ayitibwa Kanywabibumbwabumbwa erinnya Nnamasole lyebaamuggyira ku mikuduulu/eddagala ery’enjawulo omuli Emmumbwa n’ebirala byasuubirwa okuba nga yanywa mu kulafuubana kw’okuzaala Kabaka.Kyasuubirwanga nti Kabaka bwatali muntu wa bulijjo,eyamuzaalanga ateekeddwa okuba nga yayitanga mu bintu bingi,yanywa bingi,yalya bingi era yakolerwa bingi.

Nsaba nkujjukize era nti Nnamasole yenna oba Nnyinakabaka munnono zaffe wano teyafumbirwanga musajja mulala yenna engeri gyekimanyiddwa nti mutabaniwe weyaliiranga obwa Kabaka nga bba akisizza Omukono,olwo aleme kubeera na musajja yenna gwayita Bba ng’oggyeeko gweyazaalamu Kabaka.Kino era kyatunuulirwangamu Kabaka obutabeera na musajja mulala yenna gwayita Kitaawe olw’okuwasa Nnyina.