Amannya ga Kabaka g'owulira n'owa obuyiiya ekitiibwa

Beene ng'abakongozzi be bazzukulu ba Kayiira e Mugulu ab'Embogo bali bulindaala okumukongojja jjuuzi ku mbaga y'amatikkira ag'emyaka 30 mu Lubiri lwe e Mengo
Ssaabasajja Kabaka wa Buganda Ronald Muwenda Mutebi II Beene ng'abakongozzi be bazzukulu ba Kayiira e Mugulu ab'Embogo bali bulindaala okumukongojja jjuuzi ku mbaga y'amatikkira ag'emyaka 30 mu Lubiri lwe e Mengo
Image: Kizindo Charles Lule

Mu kawaayiro kaffe kano ak’eby’ennono,omugoberezi wange omulungi nsaba okkirize leero nkujjukize ku nnono n'amannya g'Omutanda Kabaka nga bwetugenda tweyozaayoza olwa Bbaffe okuweza emyaka amakumi 30 ng’atudde ku Nnamulondo.

Magulunnyondo.Erinnya lino lyatandikira ku Ssekabaka Ssuuna II,yalyetuuma.Ebyafaayo biraga nti Ssekabaka Ssuuna II yali wa Ntumbwe nnene bwatyo ne yeeyita erinnya eryo nga lyaliweddeyo nti Nnantalinnya ku Kateebe.

Kalemakansinjo,erinnya lya Kabaka lino liraga amanyige n’obugumu bwaliko era limugeraageranya n’Ensinjo ekyuma ekyeyambisibwa Abaweesi okutema ebyuma ebirala,liraga amanyi ga Kabaka eri abantu bonna abayinza okumujeemera.

Ssaabalongo nalyo linnya lya Kabaka,Ssaalongo,Nnaalongo n'abalongo babeera ba kitiibwa nnyo mu Buganda kale Kabaka abeera waggulu wa ba Ssaalongo bonna,ba Nnaalongo bonna n'Abalongo bonna bwatyo n’ayitibwa Ssaabalongo.

Nnyinimu, na lino linnya lya Kabaka liraga bwali nnannyini buyinza mu Buganda bwonna,alamula abaami n’abakyala,abaddu n'Abazaana,y’abafuga bonna.

Sseggwanga,erinnya lino lyava ku ba Kabaka kutala Jjoba mu mitwe ne liwundibwa bulungi era nga liyimiridde ng’Amayunju g’enkoko Empanga,Ssekabaka Muteesa I ye yadibya enkola y’okutala Ejjoba  wabula kino tekyaggyawo linnya lino erya Sseggwanga.

Bukaajumbe,Omuganda agamba nti Obukaajumbe anaabuseresa akeerako.Erinnya lya Beene lino liraga nga Kabaka bwasaana abeegendereza era ng’Obukaajumbe.Obukaajumbe ly’Essubi erisereekuluddwa ku nnyumba y’Essubi ate nga ligenda kuddamu okweyambisibwa mu kusereka ennyumba endala,bwotalikwasa bwegendereza owunzika toserese,nga linenuse lyonna.

Cuucu,Cuucu muddo ogumanyiddwa obulungi nti gwokya era tewali ayinza kwagala gumuyisibweko,edda abatabaazi baasibanga ku mitwe gyabwe emige gy’emiddo egya buli ngeri naye nga mpaawo asibako Cuucu olw’obukambwe we.

Nnamunswa,Nnamunswa y’Enswa enkulu ebiika amagi agaalulwamu Enswa n’Enkuyege.Ekiswa kyonna gyekiva ne gyekikoma kibeera ne Nnamunswa Omukazi n’omusajja nga kino kye kikisobozesa okusigala nga kiramu awamu n’okugenda mu maaso,Ekiswa kyonna kyolaba kifuluse kiba tekikyalina Nnamunswa era obulamu bwakyo bubeera bukomye.

Kabaka waffe ye Nnamunswa kubanga bwe bulamu bwa Buganda,waali wetubeera era Nnamunswa yenna waabeera abugirizibwa Enkuyege nga n’Omuganda bwabugiriza Nnamunswa Beene.