Navio ategese ekivvulu eky'emyaka 20 ng'ayimba

Navio
Image: Yintaneeti

Omuyimbi ow’erinnya Daniel Lubwama Kigozi amanyiddwa nga Navio ateekateeka kivvulu kya kwekulisirizaamu nga bwawezezza emyaka amakumi 20 mu kisaawe ky’okuyimba.

 

Omukulu ono ng’ayise ku gumu ku mikutu gye emikwanirawala ategeezezza nti ekivvulu kino kyatuumye ‘’20 years of Navio’’ kitegekebwa kubeerawo nga 2nd omwezi ogw’Omwenda ku Ssebizimbe wa Kampala Arena e Nsambya.Navio agasseeko nti olugendo lwe luno olw’emyaka amakumi 20 lubadde lwa buwanguzi bwereere n’eby’okuyiga ebiteewalika mu mulimu gwonna byatasobola buteekulisa.

 

Navio eyayimba oluyimba olwekuusa ku nnono y'okuwasa mu Buganda olwa ''Njogereza'' era amanyiddwa ng'omuyimbi wa ''Rap''  kimanyiddwa nti yafuna entendeka y'obukozi okuviira ddala awaka nnyina engeri gyali omu ku bannayuganda abeebuzibwako ku by'obusigansimbi Omukyala Margie Kigozi.