PAAPA MUTAKA E KENYA

Omutukuvu Paapa Francis I essaawa eno mutaka ku Ssemazinga wa Africa ku kisaawe kya Jomo Kenyatta International Airport ng’alinnye ku ttaka lya Semazinga ono ku ssaawa 10:35 mu ggwanga lya Kenya ng’asimbudde e Rooma mu Vatican mu Kalasamayanzi akayise asobole okutuuka ku Ssemazing’ono kwagenda okumala enzingu eziwera ng’alambula ekisibo ky’endiga z’Omwana wa Katonda Yezu Kristo kyeyalekera Jjajaawe Simon Petero.

Ssaabalangira w’ekerezia Katolika Paapa Francis I atemera mu gy’obukulu 78 awerekeddwako bannamawulire abagundiivu mu mulimu guno okwo ssaako abakungu abalala okuva e Vatican nga wetwogerera bannaKenya basanyufu byansusso Ssaabalangira okusookera mu ggwanga lyabwe era ng’enguudo zonna ezituuka ku kisaawe kino ziyiiriddwako abakugu mu by’okwerinda abateevunya okukira obuwuka.Paapa ajjidde ku nnyonyi ya Aitalia Boeing AZ 4000 ng’obwengula abumazeemu essaawa musanvu.Wetujjidde ku mpewo ng’Omutukuvu Paapa Francis y’akalinnya ku ttaka lino ekigerekye ekisoose era ng’embeera eri ku kisaawe kino ya bunkenke nnyo ng’eby’okerinda bya manyinnyo ssonga ng’abasumba,abeepisikoopi n’abeebitiibwa eby’awaggulu mu ekerezia bataka ku kisaawe kino.Omutukuvu Paapa ayaniriziddwa omukulembeze wa Kenya Uhuru Mweigai Kenyatta,mukyalawe,omumyuka w’omukulembeze w’eggwanga lino William Ruto n’abeepisikoopi ab’enjawulo.Wano mu ggwanga asuubirwa lwakutaano alambule ebitundu eby’anjawulo nga bwebirambikiddwa mu nteekateeka y’obugenyibwe ate awe bannayuganda omukisa mu kitambiro kya mmisa ekitukuvu gyagenda okuyimba mu kiggwa ky’abajulizi e Namugongo mu Basilica yaffe.

Balina omukisa bannayuganda abanaakuba eriiso ku mutukuvu Paapa era nebeeyoolera enneema ey’omuyiika.Ebitono ebyafaayo ku Paapa,ye mwana omubereberye mu maka omwazaalwa abaana abataano abalambirira,mu buvubukaabwe wakati mu kujjuuliriza ensimbi z’okusomakwe yakolako nga Kanyama ku bbaala emu,ye Paapa asoose okulya entebe eno nga ssi muzaale mu mawanga ga Bulaaya,ali ku mukutu gwa Twitter.